A A A A A

Гріхи: [Перелюб]


1 Коринфян 6:18
Утікайте від розпусти. Усякий бо гріх, що його чинить людина, є поза тілом. А хто чинить розпусту, той грішить проти власного тіла.

Вихід 20:14
Toyendanga.

Євреїв 13:4
Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.

Якова 4:17
Kale amanya okukola obulungi n'atakola, kye kibi eri oyo.

Єремія 13:27
Nalaba emizizo gyo, obwenzi bwo n'okubebera kwo, obukaba obw'okwenda kwo, ku nsozi ez'omu ttale. Zikusanze, ai Yerusaalemi toyagala kulongoosebwa; ebyo birituusa wa okubaawo nate?

1 Івана 1:9
Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.

Луки 16:18
Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze.

Матвія 19:9
Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze: n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.

Приповісті 6:32
Ayenda ku mukazi talina kutegeera: Ayagala okuzikiriza obulamu bwe ye ye akola bw'atyo.

Римлян 7:2-3
[2] Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba.[3] Kale bwe kityo bba bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi: naye bba bw'afa, nga wa busa eri amateeka, obutaba mwenzi bw'aba n'omusajja omulala.

Марк 10:11-12
[11] N'abagamba nti Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we, n'awasa omulala, ng'ayenze okumusobya;[12] naye yennyini bw'anaanobanga ewa bba, n'afumbirwa omulala, ng'ayenze.

Матвія 5:27-32
[27] Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga:[28] naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng'amaze okumwendako mu mutima gwe.[29] Oba ng'eriiso lyo erya ddyo likwesittaza liggyeemu, lisuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okusuulibwa mu Ggeyeena.[30] Era oba ng’omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, gusuule wala kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okugenda mu Ggeyeena.[31] Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba:[32] naye nange mbagamba nti buli muntu agobanga mukazi we, wabula ogw'obwenzi ng'amwenzezza: n'oyo awasanga gwe baagoba, ng'ayenze.

1 Коринфян 6:9-16
[9] Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga,[10] newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.[11] Era abamu ku mnwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe.[12] Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna.[13] Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya: naye Katonda alibiggyawo byombiriri. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri:[14] era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.[15] Temumanyi ng'emibiri gyammwe bye bitundu bya Kristo? kale nzirirenga ebitundu bya Kristo mbifuule bitundu by'omwenzi? Kitalo.[16] Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? kubanga ayogera nti Bombiriri banaabeeraaga omubiri gumu.

Луки 18:18-20
[18] N'omuntu omukulu omu n'amubuuza ng'agamba nti Omuyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?[19] Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda.[20] Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.

1 Солунян 4:3-5
[3] Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi;[4] buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa,[5] si mu mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda;

Марк 7:20-23
[20] N'agamba nti Ekiva mu muntu; kye kyonoona omuntu.[21] Kubanga munda, mu mitima gy'abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba,[22] okubba, okutta, obwenzi, kwegomba: obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusiru;[23] ebibi ebyo byonna biva munda ne byonoona omuntu:

Матвія 15:17-20
[17] Temutegeera nti buli ekiyingira mu kamwa kigenda mu lubuto, ne kisuulibwa mu kiyigo?[18] Naye ebifuluma mu kamwa biva mu mutima; n'ebyo bye byonoona omuntu.[19] Kubanga mu mutima mu muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okuvuma:[20] ebyo bye byonoona omuntu: naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoona muntu.

Приповісті 5:18-23
[18] Ensulo yo ebeerenga n'omukisa; Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo.[19] Ng'ennangaazi ekwagala n'empeewo ekusanyusa, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.[20] Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?[21] Kubanga amakubo g'abantu gali mu maaso ga Mukama, Era atereeza eŋŋendo ze zonna.[22] Obutali butuukirivu bwe ye bulikwata omubi, Era alisibibwa n'emigwa egy'okwonoona kwe,[23] Alifa olw'okubulwa okuyigirizibwa; Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba.

Іван 8:4-11
[4] ne bamugamba nti Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng'ayenda bamusisinkanirizza.[5] Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo: kale ggwe oyogera otya ku ye?[6] Baayogera bati nga bamukema, babe n'ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika n'engalo ku ttaka.[7] Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti Mu mmwe atayonoonangako, asooke okumukuba ejjinja.[8] N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka.[9] Nabo bwe baawulira ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero: Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati.[10] Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti Omukyala, bazze wa? tewali asaze kukusinga?[11] Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri.

Приповісті 6:20-35
[20] Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo, So tolekanga tteeka lya nnyoko:[21] Bisibenga ennaku zonna ku mutima gwo, Binywezenga mu bulago bwo.[22] Bw'onootambulanga, linaakukulemberanga; Bw'oneebakanga, linaakukuumanga: Era bw'onoozuukukanga, linaayogeranga naawe.[23] Kubanga etteeka ttabaaza; ekiragiro musana; N'okunenya kw'oyo akuyigiriza lye kkubo ery'obulamu:[24] Okukuumanga eri omukazi omubi, Eri okunyumiriza kw'olulimi lw'omugenyi.[25] Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo; So n'ebikowe bye biremenga okukukwasa.[26] Kubanga olw'omukazi omwenzi omuntu afuuka mmere bumere: N'omukazi omwenzi ayigga obulamu obw'omuwendo omungi.[27] Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, Ebyambalo bye ne bitaggya?[28] Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, Ebigere bye ne bitasiriira?[29] Bw'atyo bw'abeera ayingira eri omukazi wa munne; Buli amukomako talirema kubonerezebwa.[30] Abantu tebanyooma mubbi oba ng'abba Okukkusa emmeeme ye ng'alumiddwa enjala:[31] Naye bw'anaalabikanga, anaagattanga emirundi musanvu; Anaawangayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye.[32] Ayenda ku mukazi talina kutegeera: Ayagala okuzikiriza obulamu bwe ye ye akola bw'atyo.[33] Alifuna ebiwundu n'okunyoomebwa; N'ekivume kye tekirisangulibwa.[34] Kubanga obuggya kye kiruyi ky'omusajja; So talisaasira ku lunaku olw'okuwalanirako eggwanga.[35] Talissaayo mwoyo eri ekinunulo kyonna; So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi.

Приповісті 5:3-22
[3] Kubanga emimwa gy'omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw'enjuki, N'akamwa ke kasinga amafuta obugonvu:[4] Naye enkomerero ey'oluvannyuma ekaawa ng'omususa, Esala ng'ekitala eky'obwogi obubiri.[5] Ebigere bye bikka mu kufa; Ebisinde bye bikwata amagombe;[6] N'okulaba talaba kkubo ttereevu ery'obulamu: Amakubo ge gasagaasagana, so takimanyi.[7] Kale nno, baana bange, mumpulirenga, So temuvanga mu bigambo eby'omu kamwa kange.[8] Ekkubo lyo limwesambire ddala, So tosembereranga luggi lwa nnyumba ye:[9] Olemenga okuwa abalala ekitiibwa kyo, N'emyaka gyo eri omukambwe.[10] Abagenyi balemenga okukkuta amaanyi go; N'emirimu gyo giremenga okubeera mu nnyumba y'omunnaggwanga;[11] Naawe n'onakuwala enkomerero yo ng'etuuse Ennyama yo n'omubiri gwo bwe birimalibwawo,[12] N'oyogera nti Nga nakyawanga okuyigirizibwa, Omutima gwange ne gunyoomanga okunenyezebwa;[13] So saagonderanga ddoboozi lya bayigiriza bange, So saateganga kutu kwange eri abo abanjigirizanga![14] Nabulako katono okuba mu bubi bwonna Wakati mu kkuŋŋaaniro n'ekibiina.[15] Onyweranga amazzi mu kidiba kyo ggwe, N'amazzi agakulukuta mu luzzi lwo ggwe.[16] Ensulo zo zandisaasaanidde ddala, Emigga egy'amazzi ne giba mu nguudo?[17] Gabeereranga ddala gago wekka, So si ga bagenyi wamu naawe.[18] Ensulo yo ebeerenga n'omukisa; Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo.[19] Ng'ennangaazi ekwagala n'empeewo ekusanyusa, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.[20] Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?[21] Kubanga amakubo g'abantu gali mu maaso ga Mukama, Era atereeza eŋŋendo ze zonna.[22] Obutali butuukirivu bwe ye bulikwata omubi, Era alisibibwa n'emigwa egy'okwonoona kwe,

1 Коринфян 7:1-40
[1] Naye ku ebyo bye mwampandiikira; kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi.[2] Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne musajja we ye.[3] Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n'omukazi asasulenga bw'atyo omusajja.[4] Omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we: era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we.[5] Temumaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe.[6] Naye ebyo mbyogera nga nzikiriza bukkiriza, so siteeka tteeka.[7] Naye nandyagadde abantu bonna okubeeranga nga nze. Naye buli muntu alina ekirabo kye ye, ekiva eri Katonda, omulala bw'ati, n'omulala bw'ati.[8] Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze.[9] Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbiriganwenga: kubanga kye kirungi okufumbiriganwanga okusinga okwakanga.[10] Naye abaamala okufuumbirwaganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, omukazi obutanobanga ku musajja we[11] (naye okunoba bw'anobanga, abeerenga awo obutafumbirwanga, oba atabaganenga ne musajja we); era n'omusajja obutalekangayo mukazi we.[12] Naye abalala mbagamba nze, si Mukama waffe: w'oluganda yenna bw'abanga n'onukazi atakkiriza, omukazi bw'atabagananga naye okubeera naye, tamulekangayo.[13] N'omukazi bw'abeeranga n'omusajja atakkiriza; naye bw'atabagananga naye okubeera naye, tanobanga ku musajja we.[14] Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na wa luganda: singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.[15] Naye atakkiriza bw'ayawukananga, ayawukane: ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo: naye Katonda yatuyitira mirembe.[16] Kubanga, ggwe omukazi; omanyi otya nga tolirokola musajja wo? oba, ggwe musajja, omanyi otya nga tolirokola mukazi wo?[17] Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe yamugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga bw'atyo. Era bwe ndagira bwe ntyo mu kkanisa zonna.[18] Omuntu yenna yayitibwa nga mukomole? teyeggyangako bukomole bwe. Omuntu yenna yayitibwa nga si mukomole? Takomolebwanga.[19] Okukomolwa si kintu n'obutakomolwa si kintu wabula okukwatanga ebiragiro bya Katonda.[20] Buli muntu abeerenga mu kuyitibwa kwe yayitirwamu.[21] Wayitibwa ng'oli muddu? tokyeraliikiriranga: naye okuyinza bw'oyinzaga okuweebwa eddembe, waakiri beerenga nalyo.[22] Kubanga mu Mukama waffe eyayitibwa nga muddu, aweebwa Mukama waffe eddembe: bw'atyo eyayitibwa nga wa ddembe ye muddu wa Kristo.[23] Mwagulibwa na muwendo; temufuukanga baddu ba bantu.[24] Ab'oluganda, okuyitibwa buli muntu kwe yayitirwamu, abeerenga mu okwo wamu ne Katanda.[25] Naye ku by'obutafumbiriganwa sirina kiragiro kya Mukama waffe: naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa.[26] Kale ndowooza kino okubeera ekirungi olw'okubonaabona okwa kaakano, nga kirungi omuntu okubeera nga bw'ali.[27] Wasibibwa n'omukazi? tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? tonoonyanga mukazi.[28] Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'okubonaabona mu mubiri: nange mbasaasira.[29] Naye kino kye njogera, ab'oluganda, nti Ebiro biyimpawadde, okutanula kaakano abalina abakazi babe ng'abatalina:[30] era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n’abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina;[31] n'abo abakoza eby'omu nsi babe ng'abatabikoza bubi: kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo.[32] Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe:[33] naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we.[34] Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga musajja we.[35] Njogedde ekyo olw'okubagasa mmwe bennyini; si lwakuba nga kyambika, wabula olw'obulungi era mulyoke muweerezenga Mukama waffe obutategananga.[36] Naye omuntu bw'alowoozanga nga takola bulungi muwala we, oba nga ayitiridde obukulu, era oba nga kigwana okubeera bwe kityo, akolenga nga bw'ayagala; tayonoona; bafumbiriganwe.[37] Naye oyo anywera mu mutima gwe, nga tawalirizibwa, naye ng'ayinza okutuukiriza bw'ayagala ye, era nga yamalirira kino mu mutima gwe okukuumanga muwala we, alikola bulungi.[38] Kale afumbiza muwala we akola bulungi; era n'oyo atalifumbiza ye alisinga okukola obulungi.[39] Omukazi asibibwa musajja we ng'akyali mulamu; naye musajja we bw'aba nga yeebase, nga wa busa afumbirwenga gw'ayagala; kyokka mu Mukama waffe.[40] Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali nga nze bwe ndowooza: era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda.

Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013