1 |
Era nate tanula okukungubagira abakungu ba Isiraeri, |
2 |
oyogere nti Nnyoko kyali kiki? Mpologoma nkazi: yagalamiranga mu mpologoma, wakati mu mpologoma ento mwe yayonseza abaana baayo. |
3 |
N'akuza emu ku baana baayo; n'eba mpologoma ento: n'eyiga okukwata omuyiggo, n'erya abantu. |
4 |
Era n'amawanga ne gagiwulira; yakwatibwa mu bunnya bwabwe; ne bagireeta n'amalobo mu nsi y'e Misiri. |
5 |
Awo enkazi bwe yalaba ng'erindiridde n'essuubi lyayo nga libuze, n'eryoka eddira omwana gwayo omulala, n'egufuula empologoma ento. |
6 |
N'etambulatambula mu mpologoma, yafuuka empologoma ento: era yayiga okukwata omuyiggo, yalya abantu. |
7 |
Era yamanya amayumba gaabwe, n'ezisa ebibuga byabwe; ensi n'erekebwawo ne byonna ebyalimu olw'eddoboozi ery'okuwuluguma kwayo. |
8 |
Awo amawanga ne bagirumba enjuyi zonna nga gayima mu masaza: ne bagisuulako ekitimba kyabwe; n'ekwatibwa mu bunnya bwabwe. |
9 |
Ne bagisiba mu jjiririzo n'amalobo, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; baagitwala mu bigo, eddoboozi lyayo lireme okuwulirirwa nate ku nsozi za Isiraeri. |
10 |
Nnyoko yali ng'omuzabbibu mu musaayi gwo, ogwasimbibwa awali amazzi: yali mugimu, yajjula amatabi olw'amazzi amangi. |
11 |
Era yalina emiggo eminywevu okuba emiggo egy'obwakabaka egy'abo abaafuganga, n'obukulu bwabwe bwagulumizibwa wakati mu matabi amaziyivu ne balengerwa olw'obuwanvu bwabwe nga balina olufulube lw'amatabi gaabwe. |
12 |
Naye yasimbulibwa olw'ekiruyi; yasuulibwa wansi, embuyaga ez'ebuvanjuba ne zikaza ebibala bye: emiggo gye eminywevu ne giwogokako ne giwotoka; omuliro ne gugookya. |
13 |
Awo kaakano asimbiddwa mu ddungu, mu nsi enkalu ey'emiyonta. |
14 |
Era omuliro guvudde mu miggo egy'amatabi ge, gwokezza ebibala bye, ne kutaba ku ye omuggo munywevu okuba omuggo ogw'obwakabaka ogw'okufuga. Ebyo bya kukungubaga, era biriba bya kukungubaga.
|
Luo Bible 2020 |
Copyright © 1980, 2002, 2003, 2020 by Biblica, Inc |
|
|
|
|
|
|
|
|
|
|
Ezekiel 19:1 |
Ezekiel 19:2 |
Ezekiel 19:3 |
Ezekiel 19:4 |
Ezekiel 19:5 |
Ezekiel 19:6 |
Ezekiel 19:7 |
Ezekiel 19:8 |
Ezekiel 19:9 |
Ezekiel 19:10 |
Ezekiel 19:11 |
Ezekiel 19:12 |
Ezekiel 19:13 |
Ezekiel 19:14 |
|
|
|
|
|
|
Ezekiel 1 / Eze 1 |
Ezekiel 2 / Eze 2 |
Ezekiel 3 / Eze 3 |
Ezekiel 4 / Eze 4 |
Ezekiel 5 / Eze 5 |
Ezekiel 6 / Eze 6 |
Ezekiel 7 / Eze 7 |
Ezekiel 8 / Eze 8 |
Ezekiel 9 / Eze 9 |
Ezekiel 10 / Eze 10 |
Ezekiel 11 / Eze 11 |
Ezekiel 12 / Eze 12 |
Ezekiel 13 / Eze 13 |
Ezekiel 14 / Eze 14 |
Ezekiel 15 / Eze 15 |
Ezekiel 16 / Eze 16 |
Ezekiel 17 / Eze 17 |
Ezekiel 18 / Eze 18 |
Ezekiel 19 / Eze 19 |
Ezekiel 20 / Eze 20 |
Ezekiel 21 / Eze 21 |
Ezekiel 22 / Eze 22 |
Ezekiel 23 / Eze 23 |
Ezekiel 24 / Eze 24 |
Ezekiel 25 / Eze 25 |
Ezekiel 26 / Eze 26 |
Ezekiel 27 / Eze 27 |
Ezekiel 28 / Eze 28 |
Ezekiel 29 / Eze 29 |
Ezekiel 30 / Eze 30 |
Ezekiel 31 / Eze 31 |
Ezekiel 32 / Eze 32 |
Ezekiel 33 / Eze 33 |
Ezekiel 34 / Eze 34 |
Ezekiel 35 / Eze 35 |
Ezekiel 36 / Eze 36 |
Ezekiel 37 / Eze 37 |
Ezekiel 38 / Eze 38 |
Ezekiel 39 / Eze 39 |
Ezekiel 40 / Eze 40 |
Ezekiel 41 / Eze 41 |
Ezekiel 42 / Eze 42 |
Ezekiel 43 / Eze 43 |
Ezekiel 44 / Eze 44 |
Ezekiel 45 / Eze 45 |
Ezekiel 46 / Eze 46 |
Ezekiel 47 / Eze 47 |
Ezekiel 48 / Eze 48 |